John 9:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaddamu nti: “Namaze dda okubategeeza, ne mutaagala kuwulira; mwagalira ki ate okuwulira ogwokubiri? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaddamu nti, “Mmaze okubabuulira naye temuwulidde: ekibaagaza okuwulira omulundi ogwokubiri kiki? era nammwe mwagala okufuuka abayigirizwa be?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abaddamu nti: “Nababuulidde dda ne mutawuliriza. Kiki ate ekibaagaza okuwulira omulundi ogwokubiri? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaddamu nti Mmaze okubabuulira naye temuwulidde: ekibaagaza okuwulira omulundi ogw'okubiri kiki? era nammwe mwagala okufuuka abayigirizwa be?