John 9:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu ku Bafarisaayo abaali awo naye ne bawulira, ne bamugamba nti: “Kazzi naffe tuli bamuzibe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafalisaayo abalala abaali naye ne bawulira bwe batyo, ne bamugamba nti, “Naffe tuli bazibe b'amaaso?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafarisaayo abamu abaali awo ne Yesu, ne bawulira ng'ayogera bw'atyo, ne bamubuuza nti: “Kwe kugamba naffe tuli bamuzibe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafalisaayo abalala abaali naye ne bawulira bwe batyo, ne bamugamba nti Naffe tuli bazibe ba maaso?