John 9:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Muba kubeera bamuzibe, temwandibadde na musango, naye kaakano kubanga mugamba nti: ‘Tulaba,’ omusango gwammwe gusigalawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Singa mubadde bazibe b'amaaso, temwandibadde na kibi; naye kaakano mugamba nti Tulaba: ekibi kyammwe kibeerera awo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Singa mubadde bamuzibe, temwandibadde na kibi. Naye kaakano nga bwe mugamba nti: ‘Tulaba’, ekibi kyammwe kibasigalako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi; naye kaakano mugamba nti Tulaba: ekibi kyammwe kibeerera awo.