John 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yasirissa ebyo, n'awanda ku ttaka, n'akolamu obudongo n'amalusu, n'asiiga obudongo ku maaso ge,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okwogera ebyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'asiiga muzibe ettaka eryo ku maaso,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso,