Jonah 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ne batya nnyo, ne bamubuuza nti: “Kiki ky'okoze?” Kubanga baali bategedde ng'adduka Mukama, kubanga yali ababuuliddeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne batya nnyo ne babuuza nti, “Kiki kino ky’otukoze?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka mu maaso ga Katonda nga bwe yali amaze okubategeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu ne batya nnyo, ne bamugamba nti, “Kino kiki ky'okoze ggwe?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka ave mu maaso ga Mukama, kubanga yali ng'ababuulidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ababuulira nti yali adduse, ave mu maaso ga Mukama. Ekyo bwe baakimanya, ne batya nnyo, ne bamugamba nti: “Kiki kino ky'okoze?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ne batya nnyo ne bamugamba nti Kino kiki ky'okoze ggwe? Kubanga abantu baamanya nti adduse mu maaso ga Mukama, kubanga yali ng'ababuulidde.