Jonah 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abagoba ne banyiikira okuvuga nga badda ku ttale, kyokka ne balemwa, kubanga ennyanja yali yeeyongera bweyongezi kubeesikuulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale, kyokka ne batayinza, kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale baleme kusuula Yona mu nnyanja, naye ne batayinza kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi, n'ennyanja ne yeyongera okufuukuuka n'ebalemesa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bo ne bafuba nnyo okuvuga emmeeri okugoba ku ttale, kyokka ne balemwa, kubanga ennyanja yagenda yeeyongera bweyongezi okufuukuuka, n'ebalemesa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu ne bavuga nnyo okuddayo okugoba ettale; naye ne batayinza; kubanga ennyanja yagenda yeeyongera bweyongezi okufuukuuka okubaziyiza.