Jonah 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne bakoowoola Katonda, ne bagamba nti: “Ayi Mukama, tukwegayiridde, totuzikiriza olw'okubeera omuntu ono, totuvunaana musaayi gw'ataliiko musango, kubanga ggwe, ayi Katonda, okoze nga bw'osiimye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyebaava bakaabirira Mukama ng’abagamba nti, “Tukwegayiridde Ayi Mukama, totuleka kufa olw’obulamu bw’omusajja ono, era totuteekako musango olw’omusaayi gwe n’okufa kwe, kubanga oleese omuyaga olw’esonga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyebaava bakoowoola Mukama nga bagamba nti, “Tukwegayiridde, ayi Mukama, tukwegayiridde totuzikiriza olw'ekibi ky'omuntu ono; era totuvunaana kutta muntu ataliiko musango, kubanga ggwe, ayi Mukama, ggwe oyagadde kibe bwe kityo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyebaava bakoowoola Mukama nti: “Tukwegayiridde, ayi Mukama, totuzikiriza olw'okuggyawo obulamu bw'omuntu ono, era totuvunaana kutta muntu ataliiko musango, kubanga ggwe, ayi Mukama, ggwe oyagadde kibe bwe kityo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyebaava bakaabirira Mukama ne boogera nti Tukwegayiridde, ai Mukama, tukwegayiridde tuleme okuzikirira ku lw'obulamu obw'omuntu ono; so totussaako musaayi ogutaliiko musango; kubanga ggwe, ai Mukama, ggwe okoze ky'oyagala.
Recommended Reading