Jonah 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Situka ogende mu kibuga ekikulu Nineve, oyigirize ng'okinenya, kubanga obugwenyufu bwakyo butuuse mu maaso gange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nti, “Situka ogende e Nineeve mu kibuga ekyo ekinene obatuuseeko obubaka buno obubanenya, kubanga ebibi byabwe birinnye eno waggulu ne bintukako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okirangirire nti okwonoona kwabwe kulinnye ne kutuuka mu maaso gange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Situka ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okirangirire nti mmanyi abantu baamu nga bwe bali aboonoonyi ennyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Golokoka, ogende e Nineeve ekibuga ekyo ekinene okirangirire; kubanga obubi bwabwe bulinnye butuuse mu maaso gange.