Jonah 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yona n'asituka agende e Tarusisi adduke Omukama. N'aserengeta e Yoppa, gye yasanga eryato eryali liraga e Tarusisi; n'asasula ebisale, n'alinnya eryato asaabale nabo agende e Tarusisi adduke Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yona n’adduka okuva mu maaso ga Mukama, n’aserengeta okulaga e Talusiisi. N’aserengeta e Yopa gye yasanga ekyombo, n’akirinnya okugenda e Talusiisi. Ng’amaze okusasulira etikiti ye, n’asaabala mu kyombo ekiraga e Talusiisi ng’adduka okuva mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yona n'agolokoka okuddukira e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama. N'aserengeta e Yopa, n'asangayo ekyombo ekyali kigenda e Talusiisi, n'asasula ebisale by'olugendo n'asaabala omwo agende e Talusiisi, ave mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yona n'asituka okuddukira e Tarusiisi, ave mu maaso ga Mukama. N'aserengeta e Yoppa, n'asangayo emmeeri egenda e Tarusiisi, n'asasula ebisale, n'asaabala omwo, agende nabo e Tarusiisi, ave mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yona n'agolokoka okuddukira e Talusiisi okuva mu maaso ga Mukama; n'aserengeta e Yopa n'alaba ekyombo nga kigenda e Talusiisi; awo n'abawa empooza yaakyo n'asaabala omwo agende nabo e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama.