Jonah 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama n'akunsa empewo nnyingi omuyaga ogw'amaanyi ne gusituka ku nnyanja, eryato ne libula okumenyekamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’aleeta omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’ekyombo Yona mwe yali ne kyagala okusaanawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'asindika omuyaga omungi ku nnyanja, ne gukunta nnyo ne guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama n'akunsa omuyaga ku nnyanja, ne guba gwa maanyi nnyo, emmeeri n'eyagala okumenyeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama n'asindika empewo ennyingi ku nnyanja, omuyaga omungi ne guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka.