Jonah 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abavuzi baalyo ne batya, buli omu n'alaajanira lubaale we; ne basuula mu nnyanja emigugu bawewule ku lyato. Ye Yona yali aserengese wansi mu lyato, bwe yagalamira ne yeebakira ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entiisa ey’amaanyi n’ekwata abalunnyanja bonna, buli omu n’akaabirira katonda we amuyambe, nga bwe basuula n’emigugu egy’ebyamaguzi mu nnyanja bakendeeze ku buzito obwali mu kyombo. Mu kiseera ekyo, Yona yali mu tulo wansi mu ntobo y’ekyombo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entiisa ey'amaanyi n'ekwata abalunnyanja, buli muntu n'akoowoola katonda we amuyambe. Ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng'asse mu kisenge ekya wansi eky'omu kyombo, ng'agalamidde, yeebase otulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abavuzi baayo ne batya, buli omu n'akoowoola lubaale we amuyambe. Ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu mmeeri, bagiwewule ku buzito. Naye Yona yali mu kisenge ekya wansi mu mmeeri, ng'agalamidde, yeebase otulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaavuga ne batya ne bakaabirira buli muntu katonda we; ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng'asse mu kisenge eky'omu kyombo, ng'agalamidde, yeebase otulo.