Jonah 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugoba w'eryato n'ajja gy'ali n'amugamba nti: “Oli mu kwebaka bwebasi? Golokoka okowoole lubaale wo, oboolyawo anaatufaako ne tutasaanawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omugoba omukulu ow’ekyombo n’aserengeta gye yali n’amugamba nti, “Oyinza otya okuba nga weebase? Situka okaabirire katonda wo, oboolyawo anaatukwatirwa ekisa n’atulokola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omugoba w'ekyombo n'ajja waali n'amugamba nti, “Obadde ki ggwe eyeebase? Golokoka, osabe Katonda wo, oboolyawo anaatusaasira, ne tutazikirira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omugoba w'emmeeri n'ajja w'ali, n'amugamba nti: “Owange, obadde ki ggwe eyeebase? Golokoka, osabe lubaale wo, oboolyawo anaatusaasira, ne tutazikirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omugoba w'ekyombo n'ajja gy'ali n'amugamba nti Obadde otya, ggwe omwebasi? golokoka, osabe Katonda wo, era mpozzi Katonda anaatujjukira tuleme okuzikirira.