Jonah 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Okola mulimu ki? Ova wa? Ova mu nsi ki? Oli wa ggwanga ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalunnyanja ne babuuza Yona nti, “Tubuulire, lwaki otuleetedde akabi akafaanana bwe kati, kiki ky’okoze? Okola mulimu ki? Ova wa era oli wa nsi ki, n’abantu bo be b’ani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abalunnyanja ne bamugamba nti, “Kale tubuulire lwaki otuleetedde akabi kano? Okola mulimu ki? Ova wa? Ova mu nsi ki? Oli wa ggwanga ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamugamba nti: “Kale tubuulire atuleetedde akabi kano. Okola mulimu ki? Ova wa? Oli wa nsi ki? Oli wa ggwanga ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamugamba nti Kale tubuulire gwe tulangibwa akabi kano okutubaako; omulimu gwo mulimu ki? ova wa? ensi yammwe nsi ki? ekika kyammwe kika ki?