Jonah 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wankasuka mu ddubi, mu buziba bw'ennyanja; engezi n'enneebungulula, amayengo go n'amasingiisira go ne gambikka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go; Ddala ndiddayo nate okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go. Ddala ndiddamu nate okulaba Yeekaalu yo entukuvu?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: ‘Ngobeddwa mu maaso go. Ndiddayo ntya okulaba ku Ssinzizo lyo ettukuvu?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Ngobeddwa mu maaso go; Naye naatunuulira nate yeekaalu yo entukuvu.