Jonah 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: ‘Ngobeddwa mu maaso go, ndiddamu ntya okulaba Ekiggwa kyo ekitukuvu?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi; Amazzi nga ganneetoolodde era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazzi gansaanikira ne gaagala okunsaanyaawo, Obuziba bw'ennyanja bwanneetooloola, Omuddo ogw'omu nnyanja nga gunneezingiridde ku mutwe gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazzi gansaanikira ne gaagala okunzita! Obuziba bw'ennyanja bwanneetooloola, omuddo ogw'omu nnyanja gwezingirira ku mutwe gwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazzi gansaanikira, era okutuuka ku bulamu; Obuziba bwanneetooloola; Endago zambikka ku mutwe gwange.