Jonah 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakkirira ku ntobo z'ensozi, emiyingo gy'ensi ne ginzigalira emirembe gyonna. Naye obulamu bwange n'obuggya mu bunnya, ayi Mukama Katonda wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda. Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka mu yeekaalu yo entukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe n'awulira ng'obulamu bunzigwamu ne njijukira Mukama, N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu Yeekaalu yo entukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nawulira ng'obulamu bunzigwamu ne nzijukira okukusaba, ayi Mukama, n'owulira kye nkusaba, ng'oli mu Ssinzizo lyo ettukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emmeeme yange bwe yazirika mu nze, ne njijukira Mukama; N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu yeekaalu yo entukuvu.