Jonah 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gwange bwe gwali gunnyenjebuse, ne nkujjukira, ayi Mukama; essaala yange n'eyambuka gy'oli, mu Kiggwa kyo ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abassa omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu beefiiriza kusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abeemalira ku by'obulimba ebitaliimu nsa, beggya ku ggwe eyandibasaasidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo abassaayo omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu balekayo okusaasirwa kwabwe.