Jonah 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abo abeesiba ku bitaliimu, balekerera ekisa ekyandibagiriddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza, ndikuwa ssaddaaka. Ddala ndituukiriza obweyamo bwange kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze nnaakuwa ssaddaaka yange nga bwe nkutendereza. Naasasula obweyamo bwange. Kubanga obulokozi buva eri Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze nja kukuwa ekitambiro nga bwe nkutendereza. Era nja kutuukiriza bye nasuubiza. Mukama ye alokola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze naakuwa ssaddaaka yange n'eddoboozi ery'okwebaza; Naasasula obweyamo bwange. Obulokozi buva eri Mukama.