Jonah 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda bwe y'alaba bwe baakola, nga bavudde mu makubo gaabwe amabi, ne yeddamu ku kabi ke yali agambye okubakola, n'atakakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'alaba bye bakoze, nga baleseeyo empisa zaabwe embi, n'akyusa okusalawo kwe n'atabazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'alaba bye bakoze, era nga bwe baleseeyo empisa zaabwe embi, n'akyusa ekirowoozo kye, n'atababonereza, nga bwe yali agambye okubabonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'alaba emirimu gyabwe nga bakyuse mu kkubo lyabwe ebbi; Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n'atabubakola.