Jonah 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawulire bwe gaatuuka ku kabaka w'e Nineve, n'ava ku nnamulondo ye, n'aggyako omunagiro gwe ogw'ekitiibwa, n'ayambala ekikutiya, n'atuula mu vvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo bino ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, naava ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye, n'ayambala ebibukutu n'atuula mu vvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'e Nineeve bwe yabiwulira, n'asituka ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'ayambulamu ekyambalo kye, n'ayambala ekikutiya, n'atuula mu vvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, n'agolokoka ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye ne yeebikkako ebibukutu n'atuula mu vvu.