Jonah 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'alangirira, n'agamba wonna mu Nineve nti: “Okusinziira ku kiragiro kya kabaka n'abakungu: Temukkiriza muntu yenna oba ensolo, ente oba endiga kukomba ku kantu; tebirya yadde okunywa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aweereza ekiragiro wonna mu Nineeve nga kigamba nti, “Kino kye kiragiro kya kabaka n'abakungu be: Tewaba muntu yenna, ensolo oba ggana n'ekisibo, ekikomba ku mmere wadde okunywa ku mazzi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aweereza ekirangiriro wonna mu Nineeve nti: “Kino kye kiragiro kya kabaka n'abakungu be: tewaba n'omu abaako k'alya wadde k'anywa, k'abe muntu, oba ente, oba endiga, wadde ensolo endala yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alangirira n'abuulira okubunya Nineeve olw'etteeka lya kabaka n'abakungu be, n'agamba nti Omuntu n'ensolo, eggana n'ekisibo, bireme okulega ku kintu; bireme okulyako n'okunywa amazzi;