Jonah 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula abantu bambazibwe n'ensolo zibikkibwe ebikutiya. Buli muntu awanjagire Katonda n'amaanyi ge gonna. Buli omu ave mu makubo ge amabi, yeemansule n'ebikolwa bye eby'obukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye abantu bambale ebibukutu, beegayirire nnyo Katonda. Buli omu ave mu mpisa ze embi, n'ebikolwa bye ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bambale ebikutiya, beegayirire nnyo Katonda. Buli omu alekeyo empisa ze embi, n'ebikolwa bye ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye babikkibwe ebibukutu, omuntu era n'ensolo, bakaabirire nnyo nnyini Katonda; era bikyuke, buli kintu mu kkubo lyakyo ebbi ne mu kyejo ekiri mu mikono gyabyo.