Jonah 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani amanyi? Katonda yandyeddamu n'atusonyiwa, n'aleka obusungu bwe obwesera, ne tuwona ne tutazikirira!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye yatusalira n'atuggyako obusungu bwe obukambwe n'atatuzikiriza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oboolyawo Katonda anaakyusa ekirowoozo kye, n'alekayo obusungu bwe obukambwe, ne tutazikirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani amanyi nga Katonda alikyuka alyejjusa, n'akyuka okuleka obusungu bwe obukambwe tuleme okuzikirira?