Jonah 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze sandirumiriddwa Nineve ekibuga kino ekikulu, omusula abantu abasukka mu kasiriivu mu emitwalo ebiri, abatasobola kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono, nga kw'ogasse n'ebisolo enkumu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, omuli abaana abato abasoba mu mitwalo ekkumi n'ebiri (120,000), abatasobola kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono, era omuli n'ensolo ennyingi bwe zityo? ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nze sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekinene, omuli abaana abato abasoba mu mitwalo ekkumi n'ebiri, abatasobola kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono, era omuli n'ensolo ennyingi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene; omuli abantu akasiriivu mu obukumi obubiri n'okusukkirirawo abatayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n'omukono gwabwe ogwa kkono; era n'ensolo ennyingi?