Jonah 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne yeegayirira Omukama nti: “Ayi Mukama, ekyo si kye nagamba nga nkyali eka? Kyennava nnyanguwa okuddukira e Tarusisi. Namanya nga ggwe oli Katonda omusaasizi era ow'ekisa, atasunguwala mangu, ajjudde okwagala, ayeddamu n'atakola kabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asaba Mukama n'agamba nti, “Ayi Mukama, ssaayogera bwe ntyo bwe nali nga nkyali mu nsi y'ewaffe nti ekyo kyennyini ky'olikola? Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi, kubanga mmanyi ng'oli Katonda mulungi, ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era atayagala kuleeta bubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne yeegayirira Mukama, n'agamba nti: “Ayi Mukama, saayogera nga nkyali mu nsi y'ewaffe nti ekyo kyennyini ky'olikola? Kyennava nnyanguwa okuddukira e Tarusiisi, kubanga namanya ng'oli Katonda wa kisa, era omusaasizi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi era eyeetegese bulijjo okukyusa ekirowoozo kyo, n'otobonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asaba Mukama n'ayogera nti Nkusaba, ai Mukama, saayogera bwe ntyo nga nkyali mu nsi y'ewaffe. Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi; kubanga nategeera nti oli Katonda mulungi ajjudde okusaasira alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era ataleeta bubi.