Jonah 4:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yona n'afuluma n'agenda atuula ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvanjuba. Ne yeekolera awo akasiisira, n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo, n'atunula alabe ekinaatuukirira ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yona n’afuluma ebweru w’ekibuga n’abeera ku luuyi lwakyo olw’ebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, n’alinda alabe ekinatuuka ku kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku ludda lwakyo olw'ebuvanjuba, ne yeekolera eyo akasiisira mu makoola, n'atuula mu kisiikirize kyako, n'alinda okulaba ebinaatuuka ku kibuga Nineeve.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yona n'afuluma ekibuga, n'atuula ku ludda lwakyo olw'ebuvanjuba, ne yeekolera eyo ekisiisira, n'atuula mu kisiikirize kyakyo, n'alinda okulaba ebinaatuuka ku kibuga Nineeve.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku luuyi olw'ekibuga olwolekedde ebuvanjuba n'asiisira eyo ekisiisira n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo okutuusa lw'aliraba ekibuga bwe kiriba.