Jonah 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda n'asibusa omusogasoga, ne guwanvuwa waggulu ku Yona gusiikirize omutwe gwe, gumuwonye muli obuteeyagala. Yona n'asanyukira nnyo omusogasoga ogwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikoola by’akasiisira bwe by’awotoka olw’omusana, Mukama Katonda n’ategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda n'ategeka ekiryo n'akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye. Awo Yona n'asanyuka nnyo olw'ekiryo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama Katonda n'ameza ekimera, n'akirandiza waggulu w'ekifo Yona we yali, kimuwe ekisiikirize, kimusanyuse. Yona n'asanyuka nnyo olw'ekimera ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda n'ategeka ekiryo n'akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye. Awo Yona n'asanyuka nnyo olw'ekiryo.