Jonah 4:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba Yona nti: “Olowooza oli mutuufu okusunguwalira omusogasoga?” N'ayanukula nti: “Ndi mutuufu okusunguwala n'okutuusa okufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’alyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga olw’ekiryo ekikaze ne kifa?” Yona n’addamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo n’okwegomba okufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'agamba Yona nti, “Ggwe okoze bulungi okusunguwala ku lw'ekiryo?” Yona n'addamu nti, “Nkoze bulungi okusunguwala, era obusungu bwagala kunzita.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba Yona nti: “Ggwe olowooza nti oli mutuufu okusunguwala olw'ekimera?” Yona n'addamu nti “Kituufu nze okusunguwala, era obusungu bwagala kunzita!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'agamba Yona nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala ku lw'ekiryo? N'ayogera nti Nkoze bulungi okusunguwala okutuusa lwe ndifa.