Joshua 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mugende muyiteeyite mu lusiisira, mugambe abantu nti: ‘Mutegeke entanda, kubanga nga wayise ennaku ssatu mujja kusomoka Yorudani wano, muyingire, mutwale ensi Omukama Katonda wammwe gy'agenda okubawa ebeere yammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muyite mu lusiisira lwonna nga mutegeeza abantu bonna nti, ‘Mwesibire entanda kubanga mu nnaku ssatu mulisomoka omugga guno Yoludaani mulyoke mugabane ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu nti, ‘Mwetegekere emmere; kubanga mu nnaku ssatu mugenda kusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okubeeramu.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okuyita mu lusiisira, bagambe abantu nti: “Mutegeke emmere yammwe, kubanga mu nnaku ssatu, mujja kusomoka Omugga Yorudaani, okuyingira mufune ensi Mukama, Katonda wamwe gy'abawa ebe eyammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu, nga mwogera nti Mweteekereteekere emmere; kubanga ennaku essatu nga tezinnayita mugenda, okusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okugirya.