Joshua 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mujjukire Musa omuweereza w'Omukama kye yabagamba nti: ‘Omukama Katonda wammwe abawadde ekiwummulo n'ensi eno.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mujjukire omuweereza wa Mukama Musa kye yabalagira ng’agamba nti, ‘ Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky’okuwummuliramu era alibawa ensi eno.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabagamba, ng'ayogera nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky'okuwummula, era alibawa ensi eno.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mujjukire Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagamba nti Mukama, Katonda wammwe alibawa ensi eno ey'ebugwanjuba bw'Omugga Yorudaani, gye muba mutebenkeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabalagira, ng'ayogera nti Mukama Katonda wammwe abawa ekiwummulo, era alibawa ensi eno.