Joshua 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakazi bammwe n'abaana bammwe bayinza okusigala, ko n'ensolo zammwe, mu nsi Musa gye yabawa ebuvanjuba wa Yorudani, naye mmwe mwenna abatabaazi nga mubagalidde ebyokulwanyisa, musomoke nga mukulembeddemu baganda bammwe, mubayambeko,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakazi bammwe, n’abaana bammwe abato balisigala wano awamu n’amagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu n’okubalwanirira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balisigala mu nsi eno Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye abasajja bonna abazira, abalwanyi, balisomoka nga bakutte eby'okulwanyisa byabwe nga bakulembeddemu baganda baabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakazi bammwe n'abaana bammwe abato balisigala wano wamu n'amagana gammwe, naye mu mmwe, abazira bonna ab'amaanyi, balisomoka nga balina ebyokulwanyisa, ne bakulemberamu baganda bammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balituula mu nsi Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye mmwe mulisomoka mu maaso ga baganda bammwe nga mulina eby'okulwanyisa, abazira mwenna ab'amaanyi, mulibabeera;