Joshua 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okutuusa Omukama lw'aliwa baganda bammwe ekiwummulo, nga nammwe bwe yakibawa, okutuusa nga batutte ensi Omukama Katonda wammwe gy'agenda okubawa. Olwo nno mulidda mu nsi gye mwatwala era mwe munaabeeranga, Musa omuweereza w'Omukama gye yabawa ku ludda olw'ebuvanjuba, emitala wa Yorudani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okutuusa baganda bammwe abo nabo Mukama lw’alibawa ensi eyo n’abatebenkeza. N’oluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okutuusa Mukama lw'alimala okuwa baganda bammwe ekiwummulo, awamu nammwe, olwo n'abo baatwale ensi Mukama, Katonda wammwe gy'abawa bo. Olwo ne mulyoka muddayo mu butaka bwammwe bwe mwafuna ebuvanjuba bw'Omugga Yoludaani, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutuusa nabo lwe balimala okutebenkera mu nsi ey'ebugwanjuba bw'Omugga Yorudaani, Mukama, Katonda wammwe gy'aliwa bo. Olwo muliddayo ne mukkalira mu nsi gye mwafuna mu buvanjuba bw'Omugga Yorudaani, Musa omuweereza wa Mukama, gye yabawa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuusa Mukama lw'alimala okubawa baganda bammwe ekiwummulo, nga bw'awadde mmwe, era nabo lwe balimala okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa bo: ne mulyoka muddayo mu nsi gye mwalya, mugirye, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.