Joshua 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna aliwakanya ky'ogamba, n'atagondera by'omulagidde, wa kuttibwanga. Tukusaba kimu: beera wa maanyi, guma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli anaajeemeranga ebigambo byo n’atabiwuliriza anattibwanga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga; naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli anaajeemeranga ekiragiro kyo, n'atawulira bigambo byo, mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga. Ggwe ddamu amaanyi, era guma omwoyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga: naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.