Joshua 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Musa omuweereza wange afudde; situka kati, osomoke wano omugga Yorudani, ggwe n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye ŋŋenda okubawa, abo Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Musa omuweereza wange afudde, kale kaakano weeteeketeeke osomoke omugga guno Yoludaani ggwe awamu n’abantu bano bonna mulyoke muyingire mu nsi eno gye mbawa mmwe abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Musa omuweereza wange afudde. Kale kaakano weetegeke, ggwe n'Abayisirayeli bonna, musomoke Omugga Yorudaani, muyingire mu nsi gye mbawa bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe, n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri.