Joshua 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eno yonna eneeba nsi yammwe: okuva ku ddungu ne Lebanoni, okutuukira ddala ku Mugga Omunene, Furaati; ensi eyo yonna ey'Abakitti okutuuka ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, n’ensi ey’Abakiiti n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba esalo yammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo yammwe eriva ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku Lusozi Lebanooni mu bukiikakkono, era eriva ku mugga omunene Ewufuraate mu buvanjuba, okuyita mu nsi y'Abahiiti, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, gwe mugga Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba ensalo yammwe.