Joshua 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zonna ez'obulamu bwo tewaliba n'omu alisobola kukuziyiza. Ndiba naawe nga bwe nali ne Musa; sirikulekerera, sirikwabulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali n’omu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ez’obulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewalibeera muntu yenna aliyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo; nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa, tewaliba muntu n'omu aliyinza kukuwangula ennaku zonna ez'obulamu bwo. Nnaabeeranga naawe, nga bwe nabeeranga ne Musa. Siikwabulirenga era siikulekenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewalibeera muntu yenna aliyinza okuyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo: nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga.