Joshua 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Beera wa maanyi, guma, kubanga ggwe ojja okukulembera abantu bano obayingize basikire ensi gye nalayirira bajjajjaabwe nti ŋŋenda kugibawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe oligabira abantu bano ensi gye nasuubiza edda bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olisobozesa abantu bano okusikira ensi eno gye nnalayirira okuwa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddamu amaanyi, ogume omwoyo, kubanga ggwe olikulembera abantu bano nga bagenda okufuna ensi eno gye nasuubiza bajjajjaabwe okugibawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddamu amaanyi guma omwoyo: kubanga ggwe olibasikiza abantu bano ensi eno gye nnalayirira bajja baabwe okugibawa.