Joshua 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkusaba kimu: beera wa maanyi, guma nnyo. Okwatanga era otuusanga etteeka lyonna Musa omuweereza wange lye yakulagira; towunjukanga kudda ku ddyo oba ku kkono n'olivaako, olwo olibeera n'omukisa yonna gy'oligenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna by’okola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gy’onoogendanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mala okuddamu amaanyi, n'okuguma ennyo omwoyo, weekuumenga okole ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange, ge yakulagira. Togaviirangako ddala n'akatono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ddamu amaanyi, ogume omwoyo, era wekkaanye otuukirizenga amateeka gonna Musa omuweereza wange ge yakuwa. Togavangako n'akatono, lw'onooweebwanga omukisa buli gy'onoogendanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mala okuddamu amaanyi n'okuguma ennyo omwoyo, okwekuumanga okukola ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange ge yakulagira: tokyamanga okugaleka ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.