Joshua 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitabo ky'Etteeka kino tekikuvanga mu kamwa, wabula okyebuulirirangako emisana n'ekiro, olyoke okwatenga era otuusenga byonna ebyawandiikibwamu. Olwo amakubo go galikulamira, oliba n'omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoolezangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebikiwandiikiddwamu; kubanga bw'otyo bw'onooterezanga ekkubo lyo era bw'otyo bw'onooweebwanga omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitabo kino eky'Amateeka okisomanga bulijjo, n'okyebuulirirangako emisana n'ekiro, olyoke weegenderezenga okutuukiriza byonna ebikiwandiikiddwamu. Lw'onooweebwanga omukisa n'owangula mu byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoozangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebiwandiikiddwamu: kubanga bw'onooterezanga bw'otyo ekkubo lyo, era bw'onooweebwanga omukisa bw'otyo.