Joshua 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sikulagidde nti: ‘Guma, nywera?’ Kale nno totya, totekemuka, kubanga Omukama Katonda wo aliba naawe yonna gy'onoogendanga”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga; kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Manya nga nze nkulagidde okuddamu amaanyi n'okuguma omwoyo. Totya, era toterebukanga, kubanga nze, Mukama Katonda wo, ndi wamu naawe buli gy'onoogendanga yonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.