Joshua 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Adoni-Zedeki kabaka wa Yeruzaalemu yawulira nti Yoswa yawamba Ayi n'akizikiriza kyonna, n'akola ekibuga ne kabaka waakyo nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waakyo; nti era ab'e Gibewoni baakola endagaano ey'emirembe ne Yisirayeli, era nga kati bali wamu nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi bwe yawulira nga Yoswa awambye Ayi era ng’akizikiririzza ddala nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waayo, era bwe yawulira nti abantu b’omu Gibyoni bakoze endagaano y’emirembe n’Abayisirayiri era nga kaakano babeera nabo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, Adonizedeki kabaka w'e Yerusaalemi bwe yawulira engeri Yoswa gye yamenya Ayi, era n'akizikiririza ddala, era n'akola Ayi ne kabaka wakyo; kye yakola Yeriko ne kabaka waamu, era n'awulira nti abantu b'e Gibyoni baalagaana n'Abaisiraeri endagaano ey'emirembe era nga babeera mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Adonizedeki kabaka w'e Yerusaalemu, n'awulira nga Yoswa awambye era ng'asaanyirizzaawo ddala Ayi, n'atta ne kabaka waakyo, nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waakyo. Era n'awulira ng'ab'e Gibiyoni bakoze endagaano ey'okutabagana n'Abayisirayeli, era nga babeera mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, Adonizedeki kabaka w’e Yerusaalemi bwe yawulira Yoswa bwe yamenya Ayi n'akizikiririza ddala; nti, bwe yakola Yeriko ne kabaka waamu, bw'atyo bwe yakola Ayi ne kabaka waamu; era ng'ab'omu Gibyoni baalagaana emirembe n'Abaisiraeri, era nga bali mu bo;