Joshua 10:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate baba bakkirira akaserengeto k'e Beti-Koroni, nga badduka Abayisirayeli, Omukama n'abakuba amayinja amanene ag'omuzira agaava mu ggulu okubatuusiza ddala e Azeka. Abaafa amayinja g'omuzira ne baba bangi okusinga abo abattibwa ekitala ky'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali badduka Abayisirayiri nga bavuunuka Besukolooni, Mukama n’abasuulako amayinja amanene ag’omuzira okutuukira ddala mu Azeka; abaafa omuzira ne baba bangi okusinga n’abattibwa Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, Abamoli bwe baali nga badduka Abaisiraeri, Mukama n'atonnyesa amayinja amanene ag'omuzira, ne gabakuba. Abattibwa amayinja ago ag'omuzira, ne basinga obungi abo abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abaamori bwe baali nga badduka Abayisirayeli, Mukama n'atonnyesa amayinja amanene ag'omuzira, ne gabakuba. Abattibwa amayinja ago ag'omuzira, ne basinga obungi abo abattibwa Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, bwe badduka mu maaso ga Isiraeri, ne baserengeta e Besukolooni, Mukama n'asuula amayinja amanene nga gava mu ggulu n'abakuba mu Azeka; ne bafa: abaafa amayinja ag'omuzira ne basinga bali abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala.