Joshua 10:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yoswa, mu maaso ga Yisirayeli, n'ayogera n'Omukama ku lunaku olwo lwennyini Omukama lwe yagabulirako Abaamori mu mikono gy'Abayisirayeli, n'agamba nti: “Ggwe Enjuba, teweenyeenya waggulu ku Gibewoni, naawe omwezi, ku kiwonvu kye Ayijaloni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti, “Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni, naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa n'ayogera ne Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g'abaana ba Isiraeri; n'ayogera mu maaso ga Isiraeri nti, “Ggwe enjuba yimirira waggulu wa Gibyoni; Naawe omwezi, yimirira waggulu w'ekiwonvu Ayalooni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku Mukama lwe yaweerako Abayisirayeli okuwangula Abaamori, Yoswa n'ayogera ne Mukama mu maaso g'Abayisirayeli, n'agamba nti: “Ggwe enjuba, yimirira waggulu wa Gibiyoni. Naawe omwezi, yimirira waggulu w'Ekiwonvu Ayalooni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yoswa n'agamba Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g'abaana ba Isiraeri; n'ayogera mu maaso ga Isiraeri nti Enjuba, yimirira ggwe ku Gibyoni; Naawe, omwezi, mu kiwonvu Ayalooni.