Joshua 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjuba teyeenyeenya, n'omwezi ne guyimirira okutuusa ng'abantu beesasulizza ku balabe baabwe. Kino tekyawandiikibwa mu Kitabo kya Yasari? Enjuba yayimirira mu makkati g'eggulu n'eteyanguwa kugwa, kyenkana olunaku lulamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjuba n’omwezi ne bikola nga bwe babiragidde okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okuseseggula abalabe baabwe. Bino byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Enjuba n’eyimirira butengerera ku ggulu n’eteva mu kifo okumala olunaku lulamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enjuba n'eyimirira, Omwezi ne gulinda, Okutuusa eggwanga lwe lyamala okuwangula abalabe baalyo. Kino kyawandiikibwa mu Kitabo kya Yasali. Enjuba yalindira ku ggulu wakati, n'etayanguyiriza kugwa, okumala ng'olunaku lulamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjuba n'eyimirira, omwezi ne gulinda, okutuusa eggwanga lwe lyamala okuwangula abalabe baalyo. Kino kyawandiikibwa mu Kitabo kya Yasari. Enjuba yalindira ku ggulu wakati, n'etayanguyiriza kugwa, okumala ng'olunaku lulamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enjuba n'eyimirira, omwezi ne gulinda, Okutuusa eggwanga bwe lyamala okuwalana eggwanga ku balabe baabwe. Ekyo tekyawandiikibwa mu kitabo kya Yasali? Enjuba n'erinda wakati mu ggulu, n'eteyanguwa kugwa ng'olunaku olulamba.