Joshua 10:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewabangawo lunaku lwenkana ng'olwo, era terulibaawo, Omukama lwe yagondera eddoboozi ly'omuntu; kubanga Omukama yali alwanirira Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali lunaku lwali lubadde nga luno, Mukama okuwulira omuntu obwenkaniddaawo; Mukama yalwanirira nnyo Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewabangawo lunaku era tewaliba lulala olwenkana ng'olwo, Mukama okuwulira omuntu; kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebangawo lunaku, era tewaliba lulala olwenkana ng'olwo, Mukama okuwulira omuntu: kubanga Mukama yalwanirira Yisirayeli!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewali lunaku olwenkana olwo oba olwalusooka oba oluvannyuma lwalwo Mukama okuwulira eddoboozi ly'omuntu: kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri.