Joshua 10:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabaka abataano baali badduse nga beekukumye mu mpuku y'e Makkeda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabaka bali abataano ne badduka ne beekukuma mu mpuku e Makkeda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabaka abo abataano (5) ne badduka, ne beekweka mu mpuku e Makkeda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabaka abo abataano ab'Abaamori ne badduka, ne beekweka mu mpuku e Makkeda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakabaka abo abataano ne badduka, ne beekweka mu mpuku mu Makkeda.