Joshua 10:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babuulira Yoswa nti: “Bakabaka abataano baasangiddwa nga beekukumye mu mpuku e Makkeda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba Yoswa nti, “Bakabaka abataano bazuuliddwa, beekwese mu mpuku.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babuulira Yoswa nti, “Bakabaka abataano (5) tubalabye, nga beekwese mu mpuku e Makkeda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo abaabuulira Yoswa nti: “Bakabaka tubalabye nga beekwese mu mpuku e Makkeda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babuulira Yoswa nti Bakabaka abataano tubalabye, nga beekwese mu mpuku mu Makkeda.