Joshua 10:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe temuyimirira: muwondere abalabe, muve ennyuma nga mubatta; temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga Omukama Katonda wammwe ababawadde mu mikono gyammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye mmwe abalwanyi temubeerawo wabula mugobe abalabe bammwe, temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga ebyo Mukama Katonda wammwe abibawadde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mmwe temulinda; muwondere abalabe bammwe, mubakube nga mubava emabega; temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe; kubanga Mukama Katonda wammwe ababawadde mmwe okubawangula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe temusigala awo. Muwondere abalabe bammwe, mubakube nga mubava emabega. Temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe. Mukama abawadde mmwe okubawangula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mmwe temulinda; mugoberere abalabe bammwe, mubakube ab'ennyuma mu bo; temubaganya knyingira mu bibuga byabwe; kubanga Mukama Katonda wammwe ababawadde mu mukono gwammwe.