Joshua 10:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batya nnyo, kubanga Gibewoni kyali kibuga kikulu, nga kye kimu ku bibuga eby'obwakabaka. Kyali kinene okusinga Ayi, nga n'abasajja baamwo batabaazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adonizedeki n’atya nnyo kubanga Gibyoni kyali kibuga gagadde ng’ebibuga bya bakabaka bwe byali, nga kisingira ddala Ayi ate nga n’abasajja baamu bakirimaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'abantu be, ne balyoka batya nnyo, kubanga Gibyoni kyali kibuga kinene, ng'ebibuga bya bakabaka bwe byali, era nga kyali kisinga Ayi obunene, n'abantu baayo bonna baali bazira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'e Yerusaalemu ne batya nnyo, kubanga Gibiyoni kyali kibuga kinene, ng'ekibuga ekirala kyonna ekyalimu kabaka. Kyali kinene okusinga Ayi, n'abantu baayo nga balwanyi ba maanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne balyoka batya nnyo, kubanga Gibyoni kyali kibuga kinene, ng'ebibuga bya bakabaka bwe byali, era kubanga kyali kisinga Ayi obunene, n'abantu baayo bonna bazira: