Joshua 10:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'Abayisirayeli nga bamaze okukuba abalabe bubi nnyo kumpi obutalekaawo n'omu, abaagenda basigalira nga baddukidde mu bibuga byabwe okuli ebigo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa n’Abayisirayiri bwe baamala okutta abalabe baabwe olutta ssinziggu olubamalirawo ddala, abo abaali basigaddewo baddukira mu bibuga ebiriko ebigo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa n'abaana ba Isiraeri ne batta abantu bangi nnyo, kumpi kubamalirawo ddala, okuggyako abo abaayingira mu bibuga ebiriko ebigo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'Abayisirayeli ne bamaliriza okutta abantu abangi ennyo kumpi okubamalirawo ddala, mu bibuga ebiriko ebigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yoswa n'abaana ba Isiraeri bwe baamalira ddala okutta abantu abangi ennyo, ne baggweerawo ddala, n'abaasigalawo mu bo ne bayingira mu bibuga ebiriko ebigo,